Skip to content Skip to footer

Tewali nyonyi yakubiddwa- UPDF

Uganda chopper gunned down

Amagye ga UPDF geganye ebigambibwa nti waliwo enyonyi yaabwe eyakubiddwa mu ggwanga lya South Sudan.

Abayeekera abakulemberwa  Riek Machar baategezezza nga bwebakubye enyonyi ennwanyi eyabadde egezaako okusuula bbomu mu nfo zaabwe e Malakal.

Omwogezi w’amagye ga UPDF Agomubbanga Maj.Tabaaro Kiconco agamba amagye ga UPDF tewali bikwekweto byonna byegetebamu mu ggwanga lino mu kiseera kino.

Ono agambye nti baakoma okubeera mu South Sudan ng’olutalo lwakatandika era ng’ekyabatwalayo kununula bannayuganda abaali batubidde

Leave a comment

0.0/5