Skip to content Skip to footer

Poliisi esse abazigu 6

 

Poliisi eriko abateberezebwa okubeera abazigu 6 beyasse era n’ezuula n’emmundu 5 mu kikwekweto ekyakoleddwa ku bubondo bw’ababbi ku wiikendi.

File Photo: Aba Police ku kabangaali ya bwe
File Photo: Aba Police ku kabangaali ya bwe

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba bano bakubiddwa mu bitundu byomu Kampala n’ewalala.

 

Emmundu 3 zagyiddwa wano mu Kampala sso nga 2 zavudde Karamoja.

 

Enanga agamba era balina bebakyakumira mu buduukulu bwa poliisi nga babatebereza okuba abamu kwabo abali mu kibinja ekyanyaga obukadde 160 okuva ku bantu abenjawulo omwezi oguwedde.

 

Agamba bano essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti bavunanibwe.

Leave a comment

0.0/5