Skip to content Skip to footer

Poliisi eragidde Besigye yeyanjule mu kkooti

Enanga

Poliisi esabye eyakwatira ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti Dr. Kiiza Besigye asse ekitiibwa mu kkooti yeyanjule mu kkooti ye Kasangati  olunaku lw’okusatu olw’ebibaluwa bibakuntumye ebizze bimuweebwa nga talabikako.

 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba Besigye bamuwereza ebibaluwa ebimuyita mu kkooti wabula tabaddangamu.

 

 

Enanga agamba Besigye asuubirwa okwewozaako ku misango gy’okuleeta obujagalalo mu kibuga egigambibwa okuba nti yagizza nga 5 April ku nkulungo y’e Mulago bweyali agenda ku kitebe ky’ekibiina kya FDC e Najjanankumbi okwetaba mu kusaba kw’ekibiina wabula n’akwatibwa era n’agalibwa ku poliisi ye Naggalama.

Leave a comment

0.0/5