Kampala Capital city Authority erangiridde nga oluguudo lwa Luwum bwerugenda okufuulibwa olw’okutundirako ebintu buli lwa ssande.
Akatale kano kakutandika nga ku ssaawa kkumi n’emu ey’okumakya kaggalwe kkumi n’emu eya kawungeezi
Atwala eby’emirimu n’empereeza mu KCCA Harriet Mudondo agambye nti kino bakikoze kumalawo muze gwa butembeeyi nga kati bano baweereddwa obudde okutunda ebyaabwe
Mudondo wabula agamba nti buli musuubuzi wakusasula shs omutwalo gumu
Kino abantu betwogeddeko nabo bakyanirizza nga bagamba nti kijja kukendeeza n’olutalo wakati wa KCCA n’abatembeeyi.