Ekibiina ekitaba bannamateeka kyagaala eby’abakyala okuba n’abakiise ku buli disitulikiti biveewo kko n’abakiise n’amaggye.
Bano babadde balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka akakungaanya ebirowoozo ku nongosereza mu ssemateeka
Akulira ekibiina kino Kalooli Ssemwogerere agambye nti kino kijja kuyamba okukendeeza ku ku bungi bw’ababaka mu palamenti
Ekirowooza kyaabwe kiri nti abakiise b’abakyala babe nga bali ku bitundu nga bweguli ku bavubuka
Ate ku maggye, Ssemwogerere agamba nti bano okubeera ku palamenti kibayingiza mu byobufuzi
Kino nno olugudde mu matu g’ababaka abakyala mu palamenti nebawanda omuliro
Ababaka okubadde Jovah Kamateeka, Brenda Nabukenya ne Sarah Galiwango bagamba nti abakyala bakyayisibwaamu amaaso mu nsonga nyingi nga kizibu okwesimba ku basajja kale nga balina okusigaza ebifo byaabwe
