Bya Ivan Ssenabulya
Ekidyeri ekisabaza abantu okuva e Kiyindi okudda e Buvuma kisubirwa okudda olwaleero.
Kino kikakasiddwa omwogezi wekitongole kyenguudo, ekya Uganda National roads Authority Allan Ssempebwa.
Ekidyeri kino baali baakitwala okukidabiriza wiiki 3 emabega, wabula Ssempebwa akakwungeezi akayise atubuliidde nti abakugu baabwe, babadde bakigezesa, okulaba embeera gyekirmu.
Obutabaawo bwentambula eno bubadde busanyalazza ebyentambula nemirmu.