Bya Gertrude Mutyaba
Omubaka wa Palamenti akiikirira essaza lya Kabula mu district ye
Lyantonde, kooti emulagidde alabikeko gyeri yewozeeko ku bigambibwa nti yakuba omuntu n’amutuusaako obuvune.
Omulamuzi wa kooti ento e Lyantonde Abdullah Khaiza alagidde omubaka James Kakooza alabikeko nga 16 omwezi ogujja, nga
kigambibwa nti yakakkana ku kansala wa Kooki ward mu town council ye Lyantonde Raadi Kamalumba naamukuba, ngekyoku ttale.
Kino kiddiridde Kakooza obutabaawo mu kooti naatuma puliida we Zimumenya Kibuule.
Zimumenya ategeezezza kooti nti omuntu we aliko emirimu emitongole egyamutumiddwa sipiika wa palamenti ebweru w’egwanga naasaba omusango gwongezebweyo.
