Ebyobulamu
Eddwaliro lya kokoolo
Ssabaduumizi wa poliisi y’eggwanga Gen Kale Kaihura atongozezza omulimo ow’okuzimba ekifo kya poliisi gagadde omunajjanjabirwa abalian ekirwadde kya kokoolo.
Ekifo kino kyakuzimbibwa ekitongole kya poliisi era nga lijja kuggwa mu myezi mukaaga.
Kaihura agambye nti eddwaliro lino lijja kuba n’obusobozi obujjanjaba abantu kikumi omulundi gumu era ng’abasirikale n’abantu ba bulijjo bakukolebwaako.
Omusawo wa poliisi Dr Moses Byaruhanga agamba nti eddwaliro lino lyakuyamba nnyo okukendeeza omujjuzo mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Bino ebyogeredde ku mukolo gw’okutema evvuunike ly’okuzimba eddwaliro lino e Kololo