Amawulire
Owa poliisi asobeza ku musibe
E Soroti omusirikale wa poliisi akwatiddwa lwa kusobya ku musibe omukyala abadde agaliddwa mu kaduukulu ka poliisi lwa bwenzi .
Omusirikale ono ategerekeseko erya Olinga avunanibwa kukakana ku Susan Alungat 20, omutuuze ku kyalo Olwelai namukaka omukwano.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’obuvanjuba bw’ekitunu kya kyoga , Juma Hassan Nyene, avumiridde ekikolwa kino nawera nga omusirikale ono bwagenda okuvunanibwa era wakukangavvulwa singa gunamukka mu vvi.
Ye omuwala atwaliddwa mu ddwaliro e Soroti akeberebwe balabe oba ddala yakakiddwa omukwano.