Amawulire
Musisi ayongeddwa emyaka esatu
Okwongezaayo kontulakita y’akulira abakozi mu kampala Jennifer Musisi buli omu akulinako ndowooza yiye
Musisi wakusigala mu kifo kye okutuuka mu mwaka gwa 2017 .
Ono bukyanga ajja mu kibuga wabaddewo okulwanagana ne bannabyabufuzi abagamba nti ayagala kutwaala mirimu gyaabwe era nti by’akola bikosa omuntu wa bulijjo.
Ono nno yakkirizza dda omulimu ogumuwereddwa okusigala nga y’akulira abakozi
Wabula ba kansala betwogeddeko naye balina endowooza za njawulo ku mirimu gya Musisi.
Ng’abamu bamusaba ayongere okukulakulanya ekibuga, abalala bamuwanda lulusu
Twogeddeko ne ba kansala Bruhan Byaruhanga ne Allan Ssewanyana