Amawulire
Ba ssemaka bakwatiddwa lwa kabuyonjo .
Mu disitulikiti ye Luwuuka, abakola ku by’obulamu baliko ba ssemaka basatu beebakutte ku kyaalo Budabangula okuli ne ssentebe w’ekyalo, nga bano basangiddwa nga tebalina kabuyonjo.
Abakwatiddwa kuliko Ali kidongo, Fahad mukama Devid Tenywa nga ono yye ssentebe w’ekyalo kino.
Akola ku by’obulamu mu district eno Ali Lubogo, agambye nti kiswaza okulaba nga bassemaka okuli ne ssentebe omulamba balemwa okusima obunya obukyamirwamu.
Kati bano baggaliddwa, era nga bakuvuunanibwa okusinziira ku mateeka g’ekitundu agaayisibwa.