Amawulire

Aba Taxi bakaaba misolo

Ali Mivule

March 19th, 2014

No comments

Nsambya park

Abagoba ba taxi mu paaka ya Namayiba basabye KCCA ebaayambe ku basajja baayo ababatulugunya

Abagoba bano bagamba nti nnnayini paaka eno Bosco Muwonge abajjako enkumi bbiri buli lunaku okusimba mu paaka eno ate ngaa basasula n’omusolo gwa KCCA.

Bano era bagamba nti kuno kw’ossa n’ekya basajja ba TAPSCO okubakwata mu ngeri etali nnungamu

KCCA yasalawo taxi ezimu zidde mu paaka eno, mu Kisenyi ne ku Paaka ya Namirembe.

Ate yyo KCCA ekedde kukwata taxi zonna ezitannasasula musolo gwa mwezi

Ekikwekweto kino kibadde Wandegeya, Kisaasi, Ntinda ne Bukoto mu kawefube w’okulongoosa ekibuga

Omu ku bakutte emmotoka zino atutegeezezza nti aba taxi bano baludde ga babalabula naaye nga tebenyeenya

Ono agambye nti ekikwekweto kino kyakweyongerayo mu bitundu ebirala.