Amawulire
Ttiyagaasi e Mbale
Omukka ogubalagala gugyiddwaayo okusattulula abali ku ludda oluvuganya ababadde bakubye olukungaana e Mbale
Olukungaana luno lubadde lutegekeddwa nga bano bali wamu n’ebibiina by’obwa nakyeewa
Ekibinja kino kibadde kisomesa bantu ku nteekateeka z’okulongoosa mu mateeka g’eby’okulonda okusobola okufuna okulonda okwa mazima mu mwaka 2016
Wabula poliisi esitukiddemu n’ebafumuula nomukka ogubalagala ng’ebalanga kutegeka lukungaaana lumenya mateeka
Twogedeko n’omubaka eyategese olukiiko luno Jack Wammai Wammangaatutegeezezza nt basaba olukusa okukuba olukungaana luno ku sports bar e Mbale era nebakkirizibwa kyokka nga kibaweddeko okulaba ng’ate poliisi abalwanyisa.
Akulira poliisi ye Mbale Mike Ongicatumukubidde ku ssimu okutubuulira obuzibu webuvudde kyokka n’atutegeeza nti tasobola kwogera kubanga ali ku kikwekweto.
Mu babadde mu lukungaana luno kubadde omukulembeze wa DP Nobert Mao, Gen Mugisha Muntu, Owa UPC Olara Otunnu , Bishop zac Niringiye, Miria Matembe n’ababaka ba palamenti abatali bamu