Akakiiko k’ebyembuliziganya kateereddwa ku nninga lwaki tekazzaako massimu agaali gasaliddwako sso nga nsalessale w’okuwandiisa amassimu yayongezeddwawo.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni y’alagidde nsalessale ayongezebweyo okutuusa nga 30 August kale amassimu gonna agaabadde gajiddwako galina okuddizibwako mangu ddala.
Wabula akulira akakiiko kano Godfrey Mutabazi assabye abaakoseddwa okugira nga bagumikiriza kubanga amassimu gano gakuddako essaawa yonna.