Skip to content Skip to footer

Buganda yakujjukira olulumba lwa Obote

Bya Shamim Nateebwa

Ssabasajja kabaka Ronald muwenda Mutebi II olwaleero asiimye okulabikako eri Obuganda wali mu lubiri e Mengo okujjukira  nga bwejiweze  emyaka 51 bukya Dr Milton  Obote  alumba olubiri  olwe Mengo .

Omutanda yasiima eddiini y’obuyisiraamu okulemberamu okusaba kw’emikolo gyona era nga okusinziira ku minister webyobuwangwa nennono mu bwakabaka bwa Buganda Owekit.

Denis walusimbi olunaku luno lwamuwendo kuba lujukiza ebyaliiwo ngera sikukungubaga kwoka kubanga mwalimu ne Ssekabaka Muteesa II okusimattuka okuttibwa ekintu kyebalina okujaguza nga obuganda.

Ate ye Supreme mufti wa Uganda sheikh  Siliman kasule  Ndilangwa agamba  okusaba kuno kugenda kunyweza obwakabaka nga kwossa nokuyamba obuganda mu kugenda mu maaso n’entekateka zabwo .

Mufuti akakasiza nga omukolo wegugenda okubera ogwekitibwa kubanga akowodde abasiraamu bonna wamu nabantu abalala mu ggwanga wamu nemubwakabaka okwetaba mukusaba kuno .

MUfti era ategezezza nga kabaka bwakoze ennyo kubuganda saako  n’okubukulakulanya .

 

Leave a comment

0.0/5