Bya Damali Mukhaye
Poliisi eriko abantu 113 bekutte nga kigambibwa okuba nti bebabadde basuza bannakampala ku tebuukye.
Nga ayogerako eri bannamawulire olwaleero ku CPS , aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa ategezezza nga abakwatiddwa poliisi bwerudde nga ebalinya akagere naddala ku misango gy’obutemu, okubbisa emmundu n’emirala.
Bano kigambibwa okuba nti bebabadde batigomya abe Najera, Makindye, Bwaise, Kalerwe, Ntinda n’ebitundu ebimu e Mukono.
Mwesigwa alaze bano byebabadde bakozesa okutigomya abatuuze okuli emmundu, amasasi, ekimundu ekikwangala, ejjambiya, akabazzi obutayimbwa wamun’ebisumuluzo byebakozesa okuggula amakufulu gonna.
Agamba abantu 92 baatwalibwa dda mu kkooti era bali ku alimanda e Luzira.