Amawulire
Ebigezo bya siniya y’omukaaga bikyaali
N’okutuusa kati ekitongole ky’ebyebigezo tekinamanya ddi lwekigenda kufulumya byaava mu bigezo bya siniya ey’omukaaga.
Wiiki ewedde sabawandiisi wekitongole kino Mathew Bukenya yategeeza nga ebibuuzo bino bwebyaali eby’okufuluma ku nkomerero ya wiiki eno.
Wabula kati agamba tebanategeeza minister w’ebyenjigiriza ku nsonga eno nga ate tebanamaliriza nteekateka zonna.
Bukenya agamba bakyasengega marks z’abayizi nga tebanafulumya bigezo bino.