Amawulire

Lukwago ajulidde

Ali Mivule

April 1st, 2014

No comments

Lukwgao sad

Loodimeeya Erias Lukwago essuubi alitadde mu kkooti eyokuntikko.

Ono amaze okussaayo okujulira mu kkooti eno ng’ayagala esazeemu ebyasaliddwaawo okumujja mu ofiisi.

Ayaagala n’ekiragiro ekimuwa ebbeetu okuddamu okukola emirimu gy’obwa meeya

Mu ngeri yeemu era Loodimeeya ayagala akiragiro ekikoma ku kakiiko akalondesa okutegeka okulonda loodimeeya omuggya ng’akyaliwo

Kkooti eno akadde konna yakussaawo olunaku kw’enawulira okujulira kwe

Bbyo ebyokwerinda bikaligiddwa ku kitebe kya Cityhall nga ofiisi ya loodimeeya ekyaali nsibe

Ku ggeeti omuntu w’atuukira, buli Muntu akeberebwa era ng’omuntu alina okulaga identity kaadi

Mu bimuli bya KCCA, era abasirikale bangi ng’abalala balabiddwaako mu muddo nga beebakirizza

Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agaba nti kino kikoleddwa oluvanyuma lwa poliisi okulabula ku butujju kyokka ng’ensonda ennekusifu zitutegeezezza nti bano babadde basuubira abawagizi ba Lukwago okubalumba