Amawulire

Ebye Mulago byampuna- amazzi bagagabana na byaalo

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Mulago hospital

Ebizuuliddwa mu ddwaliro e Mulago byenyamiza.

Obadde okimanyi nti ebyaalo bibiri biramba ebiriraanye Mulago biri ku mazzi g’eddwaliro

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyobulamu nga bakulembeddwaamu Kenneth Omona bagamba nti amaka mangi gatambulira ku mazzi ge Mulago.

Omu ku baddukanya eddwaliro lino, David Nuwagaba agamba nti bakyanoonyereza okulaba engeri kino gyekyatandikamu

Mu ngeri yeemu, era ababaka bazudde nti akasomero akassibwaawo eri abasawo okusomesa abaana baabwe kafuuka ka bwannanyini ng’ensimbi ezivaamu nze naawe

Ekyewunyisa nti omwana okusomero mu kasomero kano aka nasale asasula emitwalo 75