Amawulire
Omuyizi yetugidde mu kabuyonjo
Abasomesa n’abayizi ku ssomero lya Mandela secondary school e Kyabakuza Masaka bakyaali mu kutya oluvanyuma lw’okusanga omuyizi wa siniya ey’okubiri nga yeetugidde mu kabuyonjo.
Omuwala ono ategerekese nga Esther Nakaggwa kigambibwa nti kino akikoze oluvanyuma lw’okuzuula nti abadde ali lubuto
Kigambibwa okuba ng’omwana ono omusajja eyamufunisizza olubuto wa bodaboda ate nga yamaze n’amwegaana
Omuwala ono kiteberezebwa nti okwetta akozesezza suuka gyeyesibye mu bulago neyetta