Amawulire
Omuvubuka atemyeeko kitaawe omutwe
Omuvubuka avudde mu mbeera n’atemako kitaawe omutwe.
Enjega eno ebadde ku kyaalo Kasosi mu disitulikiti ye Manafwa
Omuvubuka ono nno naye abatuuze bamutabukidde era okukkakkana nga bamukubye okutuuka lw’afudde
Ayogerera poliisi mu bitundu kino Diana Nandawula agamba nti omugenzi Boniface Mutonyi asoose kuyomba ne mutabani we Denis Okwale era bw’atyo n’amusanjaga
Nandawula wabula agamba nti bakunonyereza ekituufu ekivuddeko obuzibu kyokka nga n’abatwalidde amateeka mu ngalo nebatta omuvubuka ono nabo bakukwatibwa