Bya Moses Kyeyune
Minisita w’ebyempuliziganya Frank Tumwebaze asuubirwa mu kakiiko ka palamenti akakwasisa empisa abitebye lwaki yayisa olugaayu mu palamenti nga eragidde okuwandiisa amassimu kwongezebweyo naye n’alagira gasalibweko.
Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga olwaleero asuubirwa okuteekawo ebirina okugobererwa mu kukunya minisita ono.
Yadde ga abamu ku baminisita bawolereza Tumwebaze nti era talina kuvunanibwa nga omuntu ssekinoomu, sipiika Kadaga wiiki ewedde yategezezza nti Tumwebaze tali waggulu w’amateeka alina okubitebya.
Wabula minisita Tumwebaze naye tatidde agamba wakulabikako eri akakiiko kano anyonyole ebyaliwo.
