Skip to content Skip to footer

Palamenti yakuteesa ku bye Nalufenya

 

Bya Moses Kyeyune

Palamenti  olwaleero lw’efuna alipoota okuva mu kakiiko kayo akakola ku dembe ly’obuntu ku mbeera ya poliisi ye Nalufenya bangi gyebagamba nti eno olukutwakayo nga olaama olw’okutulugunya okuliyo.

Alipoota eno okuweebwayo kiddiridde ab’akakiiko okulambula poliisi eno efuuse ensonga n’okwekeneneya embeera y’abasibe naddala abaakwatibwa ku byekuusa ku kutibwa kw’eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andreww Felix Kaweesi.

Palamenti era yakuteesa ku alipoota eyafulumizibwa akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu ggwanga akasengeka poliisi nti bannantawunyikamu mu kutyoboola eddembe ly’obuntu.

Mu kiseera kyekimu gavumenti esuubirwa okwewozaako ekyasalibwawo ku baserikale abagambibwa okutulugunya meeeya we Kamwenge Geoffrey Byamukama.

Nga tukyali mu palamenti gavumenti era esuubirwa okuwaayo ekiwandiiko ku kigenda okukolebwa eri abaserikale abakwata abaana abato ku byekuusa ku kutibwa kwa Andrew Felix Kaweesi.

Sipiika Rebecca Kadaga wiiki ewedde yanenya poliisi okukwata abaana bano n’ategeeza nti betaaga ebyokudibwamu okuva eri minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga.

Minisita omubeezi owensonga zomunda w’eggwanga Obiga Kania yali alina okulabikako eri palamenti wiiki ewedde n’atalabikako kati y’alagiddwa olwaleero teyebulankanya.

Gavumenti erina okunyonyola lwaki n’okutuusa olunaku lwaleero bakyalina abaana mu buduukulu bwabwe.

Leave a comment

0.0/5