Bya Ivan Ssenabulya
E Mukono ku kyalo Nsube mu gombolola yamasekati gekibuga, waliwo omusajja abutikiddwa ettaka mu kirombe kyamayinja.
Junior Kazibwe abadde atemera mu myaka 35 omutuuze ku kyalo kino, olwaleero lwakedde ngolunnaku olulala wabula tazibizza.
Ono ettaka lubumbulukuse ngali mu kinnya ne banne ababalala abasimattuse wabula yye tawonye.
Poliisi ye Mukono ezze nesima okujjayo omulambo negutwalibwamu gwanika mu ddwaliro e Kawolo
okwongera okwekebejebwa.