Bya Benjamin Jumbe ne Damalie Mukhaye
Olwaleero ge mafuga ge gwanga ge gwanga agemyaka 56, ngemikolo jigenda okukwatibwa Kasasa mu district ye Kyotera.
Emikolo gino givugidde ku mubala “Standing tall as we celebrate achievements of our 56 years of independence”, nomulanga okwejjukanya nokujaguza bitukiddwako mu myaka gino.
Minister owensonga zobwa Presidenti Esther Mbayo yategezezza banamwulire olunnaku lwe ggulo nti buli munan-Uganda agwana okwetaba mu kujaguza kuno, awatali kweboola olwenjawukana amu madiini, awamanga nebibiina byobufuzi.
Eno omukulembeze we gwanga yasubirwa ngomugenzyi omukulu.
Ate poliisi erabudde aba FDC, ku ntekateeka yaabwe okujaguza amaefuga ge gwanga nemikolo egyabwe.
Kino era kidiridde ekibiina okutegeeza nti, bagenda kukuza amafuga agabwe ku kitebbe kyekibiina mu Kampala.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesigyire agambye nti aba FDC tebabategezezaako ku ntekateeka yaabwe, kalenga tebajja kubakiriza kubanga banaaba bamenye amateeka.
Wabula aboludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya FDC basabye gavumenti ejjewo okujaguzanga olunnaku luno, nga bagamba nti lukozesebwa kudbuuda ensimbi yomuwi womusolo.
Bwabadde ayogerako naffe, omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti nga president wa Tanzania bweyajjawo emikolo gino ne Uganda egwana ebafuneko ekyokuyiga.
Agamba nti ensimbi ezitekebwamu zisaana zitekebwe mu byobulamu nemubyenjigiriza, okulongoosa embeera zabantu.
