Bya Gertrude Mutyaba
Omumyuka womukulembeze we gwanga Edward Kiwanuka Ssekandi ayogedde ku bibaluwa ebitiisatiisa ebyamusulirwa mu mu maka ge.
Sekandi asinzidde ku gombolola e Kabonera mu district ye Masaka nasaba abakuuma ddembe okwongera amaanyi mu mulimo gwabwe.
Agambye nti kno kitadde obunkenke mu bantu.
Gyebuvuddeko abantu abatanategeerekeka basuula ebibaluwa mu maka ga Ssekandi agasangibwa mu Kizungu ku mu kibuga Masaka nga byali bimusaba yegatte ku kabinja akeyita Uganda Patriotic Freedom Fighters okununula eggwanga.