Amawulire

Bannamawulire balongosezza CPS, n’okusabira banaabwe abaafa

Ali Mivule

May 2nd, 2014

No comments

Journalists clean CPS

Wakati mu ku kugezako okutekawo enkolagana enungi ne poliisi y’eggwanga bannamawulire bakedde kuyonja kitebe kya poliisi mu kampala.

Omukwabaganya w’ekibiina ekirwanirira eddembe lyabannamawulire ekya Human Rights Network for journalists Robert Sempala agamba olwaleero basazewo okukwatagana ne poliisi era babalombojere ebibaluma osango okutyobola eddembe lyabanamawulire okuva eri poliisi kunaggwawo.

Mungeri yeemu akakiiko akagatte enzikiriza ezenjawulo mu ggwanga bategese emisa eyawamu okusabira bannamawulire abaafa wali ku kizimbe kya Esami ku Bombo road.

Bino bikulembeddemu olunaku lw’eddembe lyabannamawulire olw’okukuzibwa olunaku olwenkya olw’okutambulira ku mulamwa ogugamba nti eddembe lyabannamawulire olwe’ebiseers ebyomumaaso ebitangaavu:okulongoosa z’enkulakulana z’omwaka 2015.

Mu ngeri yeemu era bannmawulire basabidde bannaabwe abazze bafiira ku mulimu