Amawulire

Akasattiro e Makerere- abatujju bagaala kuyita mu bayizi

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

sniffer dogs

Poliisi ekyakunya abamu ku bayizi b’ettendekero lye Makerere oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo omuyizi eyasuubiziddwa obukadde 15 abantu abatanategerekeka singa asuula ekitereke kya bbomu ku ttendekero ly’ebyakompyuta.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Polly Namaye agamba baakunyizza dda abamu ku bayizi era balina webatuuse.

Byo eby’okwerinda bikaligiddwa ku ttendekero era nga bino bijjidde mu kaseera ng’abatujju bagenda mu maso n’okuwera okulumba Uganda