Amawulire
Nabukenya ne Nalwanga bamaze okulonda- akavuyo katandise
Munna DP Brenda Nabukenya ne munna NRM Rebecca Nalwanga bamaze okulonda.
Bano balondedde mu kifo kimu ekya St Jude era wano beesiseeko mu mikono.Nabukenya wabula agamba nti atidde olw’enkalala ezitategerekeka ate nga yye Nalwanga agamba nti abalonzi abamu obutaba ku nkalala kimweralikirizza.Ab’akakiiko akalondesa ne Poliisi bbo bagamba nti byonna bitambula bulungi
Waabaluseewo akavuyo mu kifo ekimanyiddwa nga Kasoma, ng’eno aba Brenda Nabukenya balumiriza ng’obululu obumu bwebulondeddwaamu abantu abatamanyiddwa kubanga bungi bugenze ate ng’abantu abakalonda batono.
Wabula omwogezi w’akakiiko akalondesa, Jotham Taremwa agamba nti kino ssi kituufu kubanga babadde bagaba akalulu kamukamu.
Yye amyuka omwogezi wa poliisi Polly Namaye agamba nti bataddewo ekifo abantu kyebayinza okugenda okwemulugunyizaamu n’asaba abantu okukikozesa
Ono era awakanyizza ebigambibwa nti waliwo abantu beebakutte ng’agamba nti abantu beebakutte bali ku misango mirala sso ssi gya kulonda.