Amawulire
Parambot eggaddwa
Ekitongole ekiwooza olwaleero kigadde kkampuni ensogozi y’omwenge eya Parambot Breweries.
KKampuni esangibwa Kitetikka ku lwe Gayaza
Bano bagamba nti kkampuni eno egibanjibwa emisolo egisoba mu buwumbi 2 era nga baludde nga bababanja naye nga tebekyuusa.
Allan Ssempebwa nga ono yakulembeddemu ekikwekweto kino, atubuulide nti bano bamaze ebbanga nga tebeefirayo kyebavude babaggala.