Amawulire
Kkolera yakatta 2 E Namayingo
Omuwendo gw’abakakwatibwa Kkolera mu district ye Nmayingo gulinye okutuuka ku bantu 40.
Bbo 2 bebakafa wabula nga waliwo okutya nti obulwadde buno bwandiyongera okusasanira mu bitundu ebirala.
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno Mpimbaza Hashaka agamba baakutekawo enkambi mu gombolola ye Namutumba okutekamu abalwadde bonna kubatantagira okwegatta mu balamu ekirwadde kino basobole okukirinya ku nfeeta.
Agattako nti ab’ebyolumamu okuva mu district ye Jinja baatuuse dda e Namayingo wabula nga ekirwadde tekinaggwawo olw’abantu okwongera okuwangalira mu mbeera y’obukyafu.