Amawulire
Mukuume ttaka ly’amasomero- Mamerito
Abakulembeze mu disitulikiti ye Wakiso basabiddwa okwongera okutumbula ebyenjigiriza wamu n’obujanjabi mu district okusinga okwenyigira mu kutunda ettaka.
Okusaba kuno kukoleddwa Meeya we Kiira Mamerito Mugwerwa bw’abadde ayisa embalirira ya tawuni kanso ey’obuwumbi 4.
Mamerito agambye nti abakulembeze balina okukuuma ebyapa by’ettaka lya malwaliro, amasomero, wamu n’ebiasawe okusinga okwenyigira mu kulitunda.