Amawulire

Eyatta omulambuzi asibiddwa emyaka 30

Ali Mivule

June 10th, 2014

No comments

Ddiba ssentongo

Kkooti y’amaggye etuula e Makindye aliko omusajja gw’esindise mu kkomero yebakeyo emyaka 30 lwakutta mulambuzi ku lusozi lwa Elgon.

Fred Kipsang y’asibiddwa emyaka 30 ate nga banne abalala basatu okuli Chepkrui Kamada   , Chebles Patrick ne Moses Chemtai  bbo basibiddwa emyaka 10 lwakukolagana n’omutemu omutta munnansi wa Belguim Van De Venster ng’ono bamukuba masasi

Omuwaabi wa kkooti eno Fredrick Kangwamu aleese abajulizi 9 okulumiriza abasajja bano era nga bano babalumiriza n’okutunda eby’okulwanyisa.

SSentebe wa kkooti eno Brig. Moses SSentongo Ddiba agambye nti ebikolwa by’abatemu bano byebimu ku bigoba abalambuzi era ng’abawadde ekibonerezo kinene okulabula abalala abayinza okukola kino.