Skip to content Skip to footer

Kooti egobye okusaba kwa Kipoi okwokweyimirirwa

Bya Ruth Anderah

Eyali omubaka wa Bubulo West mu palamenti Tony Kipoi Nsubuga, omulamuzi wa kooti enkulu Jane Francis Abodo tamuwadde kweyimirirwa.

Omulamuzi Abodo nga tabaddeewo, wabula mu namula emusomeddwa, agambye nti Kipoi avunanibwa emisango gya nagomola, egyekuusa ku kutabangula ebyokwerinda bye gwanga, ngalina okulinda kooti yamagye, lwenalamula ku misango gye.

Kipoi nga wetwogerera ali ku alimanda mu nkambi yamagye e Makindye, wiiki ewedde okuyita mu munamateeka we Richard Iduli yaddukira mu kooti enkulu ngaasaba omuntu we ayimblwe, wabu;a wozesebwe ngava bweru wa kkomera.

Ono era abadde awakanya nekyokumugalira mu nkambi yamagye, atenga muntu wabulijjo.

Kipoi yakwatibwa mu gwanga lya Botswana ngennakuzomwezi March 18th 2018, nebamuzza kuno.

Leave a comment

0.0/5