Skip to content Skip to footer

Omubaka agobye abasirikale okuva mu lukiiko

Bya Barbra Nalweyiso

Omubaka wa Kassanda North mu palamenti, Patrick Nsamba yezoobye n’abaserikale ba poliisi, bagamba nti babadde bazze kugotaanya olukiiko, lwabadde akubye olwebye ttaka.

Bino bibadde Lwantale mu gombolola ye Kasambya, mu district ye Kassanda, ku ttaka erikayanirwa abatuuze n’omugagga Màlon Kakumba.

Omubaka abade tasalikako musale, agobaganayizza abasirikale nabagamba nti teyetaaga bukuumi bwabwe.

Kati abatuuze nga bakulembeddwamu Ssentebe we kyalo, Walusimbi Paul bagamba nti, eyeeyita omugagga yandiba nga talina yadde akawandiiko ku ttaka lyagala okubagobanyako.

Leave a comment

0.0/5