Amawulire
Ogw’abalya abantu teguwuliddwa
Okuwulira omusango oguvunaanibwa abantu 13 abagambibwa okutta n’okulya omukyala n’omwana we gugudde butaka
Omusango guno guli mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka, Tadeo Muyindi .
Bano bavunaanibwa kulya Peace Kyamukama Arinaitwe n’omwana we ow’emyezi omwenda bwebaali bava okuziika obudde nebubayitako
Omuwaabi wa gavumenti talabiseeko mu kkooti kale ng’omusango gubadde tegusobola kugenda mu maaso
Abavunaanibwa kuliko Asaf Muhimbise, Bosco Sseggiriinya, Alex Ssebbaala, Elimelda Nalubega, Joviet Nuwagaba, Mike Kabiito, Ronald Ssebuwufu, ne Maria Nabukenya,nga bonna be Rakai