Amawulire
Eyatta omwana atuuyana-abalwanidde omukazi bakwatiddwa
Waliwo omujaasi akwatiddwa ku bigambibwa nti yatta omuntu.
David Mulika bamulumiriza okukuba amasasi agatta omwana ow’emyaka 15 eyategerekeka ko erya Priscilla mu bitundu bye Nabbingo.
Omujaasi ono okutta omwana yali alwanyisa abazigu abaali balumbye maama w’omwana ono Agnes Nanungi
Abazigu bano baali basimye ekituli mu nju kyokka ng’omwana ono mu kudduka yakozesa kituli lino era essasi gyeryamuliira
Omwogezi wa poliisi Patrick Onyango agamba nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.
Mu ngeri yeemu
Poliisi e Kabalagala ekutte abantu 3 abagambibwa okubeera abatemu.
Abavubuka bano beebamu ku kw’abo ababadde mu bibinja bibiri nga balwaanira omuwala ku kwanjula e Kibuli era mu kavuyo omu n’attibwa
Omwogezi wa poliisi mu kampala, Patrick Onyango agambye nti omugenzi Ashraf Mayanja nga kati bayigga abalala abasse