Bya Sadat Mbogo.
Tutegeezeddwa nga ebbula ly’amazi bwerirumbye abantu be Gomba era nga abantu batambula engendo empanvu okuyigga amazzi gano
Eng. Ahmed Ssentumbwe nga ono yaakola ku by’amazzi mu disitulikiti eno obuzibu abutadde ku kya district eno okubeera nga mu butonde, erina amazzi matono mu ttaka.
Kati ono agamba district etegese okwewola obuwumbi 90 okuva mu African Development Bank basike amazzi okuva mu nnyanja Nalubaale, bagatambuze okuyita mu Bulo e Butambala gatuuke e Gomba.