Bya Samuel Ssebuliba.
Minisitule ekola ku by’obulimi ekakasiza nga ekkolero erigenda okukamula ebibala e Soroti elya Soroti Fruit Factory bweriwedde okuzimba, era nga ligenda kuggulwawo mu bwangu dala.
Minisita akola ku by’obulimi Vincent Bamulangaki Ssempijja agamba nti okuzimba ekifo kino kumazeewo obuwumbi 26 obwa Uganda , era nga akadde konna omukulembeze we gwanga wakuliggulawo.
Ono agambye nti ekifo kino kisuubirwa okuba nga kikola esaawa 16 buli lunaku , wabula nga obwerarikirivu abulina mu busobozi bw’abalimi okulima ebibala ebimala okuliisa ekolero lino.