Amawulire
Abakozi mu ggaali y’omukka beediimye
Akediimo k’abakozi ba kampuni y’eggaali y’omukka abasoba mu 700 kakyagenda maaso nga bemulugunya olwabanaabwe 3 abagobeddwa mungeri etamatiza.
Abakozi bano bagamba kaluma nywera yenna ava ku ndagaano ezabawebwa kampuni eno eya Rift valley railways oluvanyuma lw’okugula ekitongole ky’eggali y’omukka ekya Uganda railways corporation.
Nga bayita mu kibiina kyabwe ekibataba abakozi bano balumiriza abakulira kampuni eno obutateka mu nkola ebiri mu ndagaano zaabwe nga okusasula akasiimo kaabo ababa bawumuziddwa ku mirimu.
Omuwandiisi w’ekibiina kino Victor Yenaro agamba ntie nsonga zino zibandadde nnyo era nga keekadde zikolebweeko
Bbo abamu ku bakozi era bemulugunya ku ngeri emirimu gya kampuni eno gyegitambulamu nga abamu bagamba ebyana by’eggaali zomukka byatundibwa dda.
Mungeri yeemu ssentebe w’ekibiina ekigatta ebibiina by’abakozi Usher Wilson Owere agamba ekizibu kya kampuni eno kinene n’okusinga abantu kyebalowoza nga kyetagisa gavumenti okuyingira mu nsonga eno.