Amawulire
Abasawo abeeranga batulemye okulondoola-gavumenti
Akakiiko k’ebyempuliziganya kakkirizza nga bwekatalina busobozi kulondoola abasawo b’ekinansi abeeranga ku mikutu gy’amawulire.
Bw’abadde alabiseko mu maaso g’akakiiko ka palamenti akakola ku kikula ky’abantu , akola nga akulira akakiiko kano Jonas Muhoozi agambye nti bafuna okwemulugunya kungi okuva eri abantu ne poliisi wabula nga mpaawo kya manyi kyebayinza kukola.
Muhoozi agamba emikutu gya leediyo mu ggwanga giyitiridde obungi nga basobola kulondoolakao nga 60 kwezo 200 eziri mu ggwanga.
Agamba nti mu kiseeera kino basobola kulondola disitulikiti okuli Mbarara, Masindi, Gulu ne Mbale wabula nga bateekateeka kwongerako endala mu mwaka gw’eby’ensimbi guno.
N’abasawo beekinnansi batuuseeko mu kakiiko kano okuwa endowooza zaabwe ku ngeri ekisaddaaka baana gyekiyinza okulwanyisibwaamu