
Poliisi mu disitulikiti ye Pallisa ekutte avunanyizibwa ku by’ensimbi ku disitulikiti ye Kibuku Stephen Mwilugazu ku byekuusa ku kutta abayizi 3 mu disitulikiti ye Pallisa.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Micheal Odongo agamba omukungu ono y’akwatiddwa n’abalala okuli Koloneryo Koyi , Peter Dambyone Kattooko Mwilugazu nga bonna batuuze ku kyalo Kalaki.
Okusinziira ku poliisi Stephen Mwilugazu nga alina ekiyumba ky’enkoko, yayunga waya z’amasanyalaze ku kiyumba kino okwewala ababbi wabula gaakubamu abaana abasatu bano bwebaali bagezaako okumenya bayingire okubba enkoko.
Kigambibwa nti oluvanyuma lw’okukubwa amasanyalaze, abakwata emirabo gyabwe nebagipakira mu mmotoka nebajisuula mu kitoogo kye Odwarata swamp in Gogonyo sub-county.