Skip to content Skip to footer

Ebya NRM bkyalanda- enkalala zibbiddwa e Kalungu

Poliisi ye Kalungu eriko omuwandiisi w’ekibiina kya NRM ne Kansala bekutte lwakubba nkalala z’ekibiina okuva ku ofiisi z’ekibiina ku disitulikiti.

 

Abakwate bategerekee nga  Kristopher Mulindwa  ow’egombolola ye Bukulura wamu ne  Daniel Sejjoba nga ono ye kansala.

 

Ababiri bano bavunanibwa kubba nkalala n’ekigendererwa z’okuzitwala eri eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi nga era betaba nemukubba obululu mu kamyufu k’ekibiina.

 

Omuwandiisi wa NRM ku gombolola ye Bukulula Jolly Lwakanejere ategezezza nga ,Mulindwa  yekobaana ne Ssejjoba nebayingira ofiisi ze Bukulula nebakyankalanya enkalala okuli okusangulako amanya agamu nebajukawo amanya amalala.

 

Enkalala ezabiddwa kuliko ez’ebyalo nga  Kansamba, Muwomya ne  Kasenyi .

 

Aduumira poliisi ye Kalungu  Abudulatif Zzake agamba okunonyereza kulaze nga Sejjoba bweyasasudde Mulindwa emitwalo 50 okumubbira obululu ayitemu.

Leave a comment

0.0/5