Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Norbert Mao ategezezza nga ekibiina kye bwekikyali ekyamanyi nga era kyakusigala bwekityo.
Mao agamba nti yadde nga abakulembeze bangi bavuma ekibiina kino, kyekyabatuusa webali.
Nga agulawo olukungaana lw’ekibiina olw’ennaku 2 Olw’ennaku 2, Mao ategezezza nti bannabyabufuzi bangi bakulembeze ebigendererwa byabwe nga abantu nebasimuliza ebitoomi ku kibiina kino sso nga kyekibatusizza webali.
Ye ssabawandiisi w’ekibiina kino Mathias Nsubuga akunze ekibiina kya DP e Masaka okuwagira eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi mu kalulu ka 2016.