Skip to content Skip to footer

Abavuganya boolekedde olusozi- Besigye

File Photo: Besigye nga ayogeera
File Photo: Besigye nga ayogeera

Akwatidde ekibiina kya FDC bendera Dr. Kiiza Besigye alabudde nga okukwatibwa kw’aboludda oluvuganya gavumenti bwekyeraga lwatu nti obuyinza tebasobola kubuwanguilira ku kakeeka.

Nga ayogerako nebannamawulire mu makage e Kasangati,  Dr. Besigye ategezezza nga gavumenti bwekola buli kisoboka okulemesa ab’oludda oluvuganya gavumenti kale nga ye ssaawa bannayuganda okusitukiramu babanje obwenkanya.

Wabula aweze nga ekibiina kye bwekigenda okugenda mu maaso n’enteekateeza zaakyo okwetegekera akalulu ka 2016 omuli okukuba enkungaana.

Poliisi n’akakiiko k’ebyokulonda bbo bazze bakilambika nga bwebatajja kukkiriza yesimbyewo yenna ku bwapulezidenti kukuba nkungaana nga olunaku lwa kempeyini olutongole olwa nga 9 November telunatuuka.

Leave a comment

0.0/5