Amawulire
Abe Banda basenguddwa
Abantu okuva mu maka agasoba mu 200 e Banda beebakaaba oluvanyuma lwa Kampala Capital City authority okusanyawo amaka gaabwe.
Kino kikoleddwa okuzimba paaka omunasimba emmotoka ze Nakawa ezigenda okusengulwa akadde konna
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bagaala kukendeezaa ku mujjuzo mu kibuga.
Wabula abatuuze beemulugunyizza ku ky’okusengulwa nga tebaliyiririddwa.
Bano bagaala KCCA ebasasule era nga bagamba nti bakusigala nga boogera ne bekikwatako