Amawulire

Abe Mukono balemedde ku nsonga- gusalwa nga 9th omwezi guno

Ali Mivule

July 5th, 2014

No comments

Quarry

Omusango gw’abatuuze be Bamutakudde ne Kyampisi abawaaba kkampuni y’aba china guwulirwa nga 9th omwezi guno

Abatuuze bano bawaaba aba china beebagamba nti bakuba amayinja

Abatuuze bano bagamba nti olw’amayinja gano abakyala bangi bavuddemu embuto, ate nga bangi balwadde n’abalala.

Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Mary Khainza yategeezezza nga bweyabadde tasobola kugenda mu maaso nakusalawo ku musango guno n’asabayo obudde

Omwogezi w’ekibiina ekyakulembeddemu abatuuze bano ekya Center for Health Human, Rights and Development, Nuru Nakibuuka agamba nti kyabayisizza bubi kyokka nga bagumu nti amazima gajja kusalibwaawo.

Wabula bbo aba China balumiriza nti abatuuze bano babakoledde bingi kyokka nga tabasiima nga batuuka n’okubaleetera amazzi mu kitundu