Amawulire

Abantu batandise okudduka e Bundibuggyo

Ali Mivule

July 8th, 2014

No comments

Bundi

Ebikumi n’ebikumi by’abantu batandise okudduka e Bundibuggyo nga beesega ekibambulira.

Abasinze okusenguka be ba Bamba ababeera mu nsozi ze Lwengo.

Abantu bano kati bakungaanidde mu nkambi emanyiddwa nga Bukwanga ng’eno yesudde kilomita nga 7 okuva mu kibuga kye Bundibuggyo.

Wabula ggo amaggye gagamba nti tegannategeera ku mawulire gano.

Omwogezi w’ekibinja ky’amaggye eky’okubiri, Major Ronald Kakurungu agamba nti baayongedde amaggye mu kitundu okulaba nti tebaddamu kulaba ku buzibu.

Yyo Poliisi egamba nti omuwendo gw’abakafa e Bundibuggyo gutuuse ku 93

Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga agamba nti batandise okwawulamu ebifo ebyakoseddwa mu bitundu bye Kasese, Ntoroko  ne Bundibugyo.