Amawulire
Oluyimba lw’eggwanga ssirwakukyuuka- Mbabazi
Oluyimba lw’eggwanga ssirwakukyusibwa
Ssabaminista Amama Mbabazi y’akakasizza ababaka mu palamenti ensonga eno bw’ereeteddwa mu palamenti.
Kino kikontana n’ebyayogerwa minister akola ku byobulamu Maria Mutagamba agamba nti gavumenti etaddewo obukadde 187 okukola ku kwongera eggono mu luyimba luno.
Ensonga eno ereeteddwa omubaka we Bulamogi Kenneth Lubogo abadde asaba nti gavumenti etangaaze ku kituufu ekigenda okukolebwa ku luyimba luno.
Mbabazi agambye nti olukiiko lwa ba minisita terunnaba kuteesa ku nsonga eno era nga lwakusigala nga bweruri kati
Ensonga eno yavumirirwa nnyo ababaka mu palamenti n’abantu ba bulijjo