Skip to content Skip to footer

Katikkiro wa Rwenzururu akwatiddwa

arrests

 

Agava e Kasese gooleka nga  Katikiro w’obusinga bwe’Rwenzululu bwakwatiddwa.

 

Noah Nzagale y’akwatiddwa ku byekuusa ku bulumbaganyi obwakoleddwa e Kasese obwalese abasoba mu 100 nga bafudde.

 

Omu ku balangira mu businga  bwe Rwenzululu  christpher Kibanzanga akakasiza kino wabula natawa nsonga evudde  kukwatibwa kwa Katikiro ono.

 

Bino webijidde nga abantu 12 kyebajje bakwatibwe mu disitulikiti ye Ntoroko nga bano basangiddwa nga bakaalakaala n’emajambiya, emafumu n’agayinja aganene.

 

Wabula yo embeera egenda edda mu nteeko mu bitundu bye Bundibugyo nga abantu bagenda badda ku mirimu gyabwe.

Yo poliisi  n’amagye bikyalawuna ekitundu kyonna.

Leave a comment

0.0/5